Amawulire
Bamutemyeko omutwe lwakubba pikipiki
Bya Sadat Mbogo
Ensasagge ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kayenje mu town council y’e Gombe mu district ey’e Butambala, aba bodaboda bwebakidde gwebateeberezza okubeera omubbi wa pikipiki ya nebamutemako omutwe.
Kigambibwa nti owa bodaboda ategeerekese nga Kasibante yaatutte omusaabaze mu kabuga k’e Buwama, olwamutuusizza n’abaako waparkinga pikipiki ye okugenda okwetaawuluzaako.
Ono okukomawo yasanze pikipiki etwaliddwa era amangu yatemezza ku banne ku stage y’e Kayenje abaatandikiddewo okusuula emisanvu.
Oluvanyuma bagudde ku musajja ono atanaba kutegerekeka mannya, nebamukuba nebamutemako omutwe.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Katonga Phillip Mukasa ategeezezza nti bakyanonyereza ku byonna, ebibaddewo era navumirira ekyokutwaliranga amateeka mu ngalo.
Bino wbeijidde ngobubbi bwa boda boda bweyongedde nnyo mu bitunu bye gwanga ebyenjawulo.