Amawulire

Bamusse lwakunywera sigala mu lujudde

Ali Mivule

May 2nd, 2017

No comments

Bya  Simon Peter Emwamu

Poliisi mu disitulikiti ye  Amuria eriko omusajja gw’ekutte lwabigambibwa nti asse munne eyamuliranye nga afuuweta sigala.

Abeerabidde n’agaabwe bategezezza nti Stephen Ojulong bwebaabadde mu katawuni ke Wera yakubye munne Asuman Amenu ekiggo ku ssekalootera nebamuwa ekitanda gyeyafiiridde.

Omu ku yeerabiddeko  Richard Epesu atutegezezza nti Ameno  okusooka yabitutte nga ebyolubalaato nga Ajulong amugambye amuviire ekyaddiridde kummuwuttula omugenzi n’addusibwa mu ddwaliro lye Soroti yeyafiiridde.

Richard Eriau nga y’aduumira poliisi ya Amuria akakasizza nga bwebaggalidde Ojulong nga era bakusooka kumukezebeza balabe oba ssimulalu kubanga yali aguddeko akazoole.