Amawulire

Baminisita bakkiriza bannasayansi bongerwe Omusaala

Baminisita bakkiriza bannasayansi bongerwe Omusaala

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Olukiiko lwa baminisita luyisiza ekiteeso ekyokwongeza bannansayansi omusaala mu ggwanga lino.

Okusinzira ku minisita omubeezi avunanyizibwa ku kulungamya eggwanga Chris Baryomunsi,baminisita olunaku lweggulo bakkirizza abasomesa bannasayansi, ba pulofeesa, batuta, ne balekichala bongerwe omusaala.

Omukulembeze weggwanga aludde nga ayagala bano okubongeza omusaala nga agamba nti ayagala Uganda eyenkya okutambulira ku musingi ogwa sayansi ne technologia.

Museveni ayagala buli omwezi bapulofeesa basasulwe Shs15m, ba senior medical consultants Shs17m, abasomesa ba university Shs12.2m, ate doctors Shs5m.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *