Amawulire
Balwanidde mu kivvulu Chameleon bwatazze
Bya Sadat Mbogo
Police mu district y’e Gomba eriko abantu 5 beekutte, nga kigamabibwa nti bakakanye ku bintu ebiwerako nebabyonoona mu kivvulu ekyategekeddwa mu kisaawe e Bukandula mu district ye Gomba.
Kigambibwanti ekivvulu kino kyategekeddwa abantu 2, nga baabadde balanze omuyimbi Jose Chameleon okukyetabako kyokka n’atajja, ekyajje abantu mu mbeera.
Kati bwezituuse ssaawa nga 8 mu kiro ekikeesezza olwaleero, abawagizi baavudde mu mbeera nebakkakkana ku bintu omwabadde emizindaalo, stage n’obutebe obusoba mu 1,000 nebabyonoona.
Addumira poliisi e Gomba Alfonse Musoni agambye nti, baabadde tebategeezeddwako ku kubeerawo kwa kivvulu kino, kalenga kibaddewo wabweru wamateeka.
Mu kaseera kano abakwate bakuumibwa ku poliisi e Bukandula ng’okubuuliriza bwekugenda mu maaso.