Amawulire

Balondemu asindikibwa ku alimanda lwa bufere

Balondemu asindikibwa ku alimanda lwa bufere

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2023

No comments

Bya Ruth Andera, 

Ssentebe wa kakiiko ke byettaka mu Kampala era nga Munnamateeka David Balondemu asimbiddwa mu kkooti ya City Hall n’avunaanibwa omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju oluvannyuma lw’ebigambibwa nti yafera omusiga nsimbi munnansi wa Korea Hyun Uk Kim ssente eziwera 600USD mu ddiiru ya zaabu ey’ekicupuli.

Balondemu ow’emyaka 52 yeegasse ku balala babiri abali ku limanda okuli Mugisha James Jeff ne Maviri Godfrey.

Ono alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Edgar Karakire namusomera emisango ebiri omuli okufuna ssente mu kwefuula mu lukujjukujju n’okwekobaana okuzza omusango.

Oludda oluwaabi lugamba nti abavunanwa wakati w’omwezi gwa March ne November 2021 ku ofiisi ya M/S Balondemu & Co. Advocates ku luguudo lwa Parliamentary Avenue ssente ezoogeddwako baazifuna nga beefudde nti baali baguza Hyun UK Kim zaabu kkiro 63 gwe bataalina.

Balondemu asindikibwa ku alimanda okutuusa nga November 6th 2023