Amawulire

Bakiggala bakukuluma

Bakiggala bakukuluma

Ivan Ssenabulya

October 23rd, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Abamasomero g’abaana ba kiggala bakukulumidde abatwala eby’enjigiriza mu gwanga olwokubasulirirra.

Bano bagamba nti basanze okusomoozebwa okwamaanyi mu kiseera kyomuggalo, naye tewali buyambi bwonna gavumenti bweyabatusiza.

Akulira Hand in Hand abalabirira abaana ba kiggala mu kibuga Mukono, nga ye Loyce Takwodwori agambye nti abaana abalala baatekebwa ku mwanjo era babagerako mu ntekateeka yokuggulawo amasomero naye bbo tebamanyi kidako

Agambye nti abaana bano betaaga ebitabo kwebasomera kubanga byanjawulo naye tebabirina, atenga nemu kusoma kwa TV ne Radio mu muggalo tebalowozebwako oba okubawa abataputa.