Amawulire

Babiri battiddwa e Namayingo- abalala 18 bakwatiddwa

Ali Mivule

September 8th, 2014

No comments

enumerators

Ab’obuyinza mu disitulikiti y’e Namayingo bakutte abakulembeze b’enzikiriza ya Injiri 18 lwakutaataganya nteekateeka yakubala bantu.

Enzikiriza eno erudde nga yekiika mu nteekateeka za gavumenti nga yalemesa n’abagoberezi baayo okwewandiisa okufuna endagamuntu.

Omubaka wa pulwzidenti mu kitundu kino  Mpimbaza Ashaka agamba bano bakwatiddwa nga bagaana abagoberezi baabwe okubalibwa nti kikolwa kya sitaani era baakugweera mu geyeena singa babalibwa.

Bano kati baakuvunanibwa mu mbuga z’amateeka.

Mukitundu kyekimu  abantu 2 bebafiiridde mu bukuubagano wakati w’abavubi n’abatuuze.

Abavubi  basse  Musweri Tofa wabula  nga bamulanga kuvubira w’attakirizibwa ,abatuuze nabo molw’obusunga nebabakyukira nebatta muvubi munaabwe   Odongo Michel  owokumwalo gwe Muloni.

Omubaka wa pulezidenti e Nmayingo  Mpimbaza Ashaka agamba poliisi ebakanye n’ekikwekweto ky’okukwata abo bonna abaakoze effujjo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *