Amawulire

Babbye embuzi 10 ku kyalo

Ali Mivule

April 5th, 2017

No comments

 

Bya Ali Mivule

Abatuuze ku kyalo Kigenda mu gombolola ye Kawolo mu disitulikiti ye Bukiwe basattira olw’ababbi ababasuza ku tebuukye.

Kino kiddiridde ababbi okubalumbagana nebabba embuzi 10 zonna nebazisala nebakuuliita n’enyama.

Sumaani baamubbyeko 2, Mukyala Nanjobe baamubidde 3 sso nga ye Mukyala Nabatanzi embuzi 5 zonna mmye.

Ow’ebyokwerinda ku kyalo Scout Mukasa atutegezezza nti ababbi bano baabadde bajooga kubanga obusa, ebyenda, n’amalaliba baabilese mabega nebagenda n’enyama.

Twogeddeko n’abamu ku batuuze .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *