Amawulire

Ba kansala b’eNansana bagobye engereka y’omusolo empya

Ivan Ssenabulya

March 5th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Ba kansala abakiika ku lukiiko lwa Munisipalai ye Nansana bagobye ekiwandiiko ekireteddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyensimbi, ekibadde kiraga emisolo egigenda okugerekebwa mu mwaka gw’ebyensimbi 2021/22.

Patrick Kalema ayagala bayise emisolo gino, olwogitekebwe mu Mbalirira egenda okusomwa wabula bakansala okubadde Kiyita Daniel Mivule, Balinya Husein nabalala kyebawakanyizza.

Abakiise bawakanyizza omusolo guno nga bagamba nti gunyigiriza omuntu wa wansi.

Kati amyuka Meeya we Nansana Kato Paul Yiga agambye nti emisolo gino ssi Nansana yegigereka wabula bagendera ku miwendo egyayisibwa palamenti.