Amawulire

Atunda mukene waakusasula engasi y’amitwalo 16

Atunda mukene waakusasula engasi y’amitwalo 16

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Omutembeeyi wa mukene awereddwa ekibonerezo kyakusasula engasi ya kkooti yamitwalo 16 lwakuyembeeya nga talina lukusa okuva mu kitongole kya KCCA.

Mugisha Felix asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku City Hall Valerian Tuhimbise, amusomedde omusango n’agukiriza

Wabula oluvanyuma omulamuzi amulagidde asasule engasi ya kkooti yamitwalo 16, era bwaba alemereddwa yebake mu kkomera e Luzira okumala omwezi Mulamba.

Oludda oluwaabi lugamba nti Mugisha omusango yaguzza nga 12 August 2019 ku Market Street, mu Kampala.