Amawulire

Ateberezebwa obutujju bamusse atoloka

Ateberezebwa obutujju bamusse atoloka

Ivan Ssenabulya

November 5th, 2021

No comments

Bya Ritaha Kemigisa

Poliisi wansi wekitongole ekirwanyisa obutujju ekya Joint Counter Terror task team baliko omusaja gwebasindiridde amasasai agamusse, ateberezebwa okubera omutujju abadde atoloka.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga, ono abuse ku kabangali ya poliisi nagezaako okudduka bwebabadde babatwala ku SID e Kireka.

Enanga agambye abasirikale ababadde mu kikwekweto kino bagezezaako okuwandagaza amasasi agamulabula ayaimirire, neyerema kyebabadade balina okukoa kwekukuba ku nnyama.

Kati afirirdde awo Naguru okumpi ne remand home, bwebamukubidde

Omugenzi ye Adam Matovu owemyaka 36 ngabadde amanyiddwa nga Manihajji, abadde mutuuze we Ttula mu division ye Kawempe mu Kampala.

Bino webijidde nga Uganda yakolebwako obulumbaganyi bwa bbomu bwamirundi 2, mu bbanga eriyise.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *