Amawulire

Asse mukyala we ne bebi

Ali Mivule

September 23rd, 2014

No comments

Man kills wife

Abatuuze mu disitulikiti ye Nwooya baakeredde mu maziga oluvanyuma lw’omu ku batuuze okutta mukyala we n’omwana naye neyetta.

Simon Opiyo ow’emyaka 22 asse mukyala we ow’emyaka 19 ategerekese nga Prossy Adoch ne bebi waabwe ow’omwaka ogumu.

Omusajja ono okutta mukyala we kigambibwa nti akozesezza nyondo gy’abakubye mu mutwe

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Aswa Jimmy Patrick Okema akakasizza amawulire gano n’ategeeza ng’emirambo gyonna bwegitwaliddwa mu ddwaliro e Gulu.

Okema agamba nti poliisi ekyaddeko mu kitundu kino nategeeza nti ekivuddeko obuzibu bwonna tekinnategerekeka

Okema asabye abafumbo bulijjo okuddukira mu kkooti y’amaka ssinga bafuna obuzibu bwonna.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *