Amawulire

Asobezza ku muwala ate omusajja atemyeeko nazaala omukono

Ali Mivule

January 28th, 2014

No comments

hand cut

Poliisi e Kamuli ekutte omusajja eyakkakkanye ku muwala we n’amusobyako okwesasula fiizi ze yamuwa okugenda ku ssomero.

Vincent Musiro omusomesa ng’atemera mu gy’obukulu 60,  era omutuuze we  Namwendwa Kamuli y’akwatiddwa.

Ono yayise muwala we owa siniya ey’okubiri  mu kisenge kye n’amusobyako era olwakwatiddwa kwekutegeza ng’ono bw’amwononerako fiizi enyingi nga yabadde yeesasula.

Mu ngeri yeemu, poliisi e Bugiri eri ku muyiggo gw’omusajja ow’emyaka 29 eyakkakkanye ku Mukono gwa Nyazaala we n’agutemako

Ono yabadde agenze mu maka gano  okuyamba okugonjoola obutakkanya wakati wa muwala we ne bba.