Amawulire

Amyuka Sipiika wa palamenti alagidde Obukiiko

Amyuka Sipiika wa palamenti alagidde Obukiiko

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Amyuka Sipiika wa palamenti Anita Among alagidde obukiiko obwenjawulo, obwawebwa emirimu okwekeneenya amateeka mu bubaga, bakomyewo alipoota zitesebweko.

Bweyabadde ayogerera mu lutuula lwa palamenti akawungeezi akayise, Among yajjukizza ababaka nti akakiiko kaweebwa ennaku 45 okwekeneenya ebbago nokwanja alipoota.

Agambye nti ku mateeka mu bubaka 15 agayanjulwa, 6 gamaze okuyisibwa nga 9 gegatanaba wabulanga amateeka 2 gakyali mu bukiiko.

Amateeka mu bubage agakyakandaliridde kuliko erya; Markets Bill, The Mining and Minerals Bill, The Succession Amendment Bill, The Supplementary Appropriation Bill, The Physical Planners Registration Bill and the Fisheries and Aquaculture Bill, 2021.

Mungeri yeemu amyuka Sipiika wa palamenti Anitah Among alagidde minisitule yebyensimbi okulaga olukalala lwabasubuzi abakoleranga e South Sudan abagenda okusasaulwa.

Kino kyadiridde ababaka okubanja obwenkanya mu nsonga eno.

Omubaka we Dokolo Cecilia Ogwal yakukulumidde gavumenti nagamba nti baayisa ensimbi okuliwa eri abasubuzi mu kampuni 33 mu mwaka gwa 2019, wabula minisitule yebyensimbi yaliwa eri kampuni 10 zokka ate ezisajakudde era ezesobola.

Wabula mu kwanukula, minisita omubeezi owebyensimbi Henry Musasizi yagambye nti obukadde bwa $ 56 zezaalina okusasaulwa kampuni zonna naye basasulako obukadde 29 eri kampuni 10 nayenga teyamanyisibwa lwaki endala tezasasulwa.

Wano Among yalagidde minisitule ekomewo ne alipoota ematiza nolukalal lwabasasulwa, era lwaki kampuni 23 zaalekebwa ebbali.

Omubaka wa Busiro East Medard Sseggona yasabye minisita Musasizi era okulaga enkola egobererwa ku kusasaula kuno, ani asooka n’okuddako era lwaki.