Amawulire

Amyuka meeya atutte musisi mu kooti

Ali Mivule

April 19th, 2013

No comments

Deputy lord mayor

Obutakkaanya wakati w’oludda olwebyekikugu nabakulembeze abalonde mu KCCA kirabika byakugweranga mu kooti.

Kuluno amyuuka lord mayor wekibuga kampala Suleiman kidandala awazewaaze akulira ekibuga mukyaala Jeniffer Musisi okutuuka mu mbuga zamateeka lwakulemererwa kuwa office ye nsimbi ziddukanya mirimu n’obutamusasula musaala gwekifo kyalimu.

Kidandala agamba okulondebwa kwe kwakakasibwa olukiiko lwaba kansala omwaaka oguwedde, wabula mukyala musisi tamukakasa era nga tamukombyanga ku musaala.

Agattako nti office ye mpaawo mulimu gweyinza kukola nga terina nsimbi nsimbi nga kino kikosezza entambula yemirimu

Mungeri yeemu ne lord mayor wa kampala saalongo Erias Lukwago atiisiza okuwawabira minister wa kampala Frank Tumwebaze mumbuga z’amateeka lwakulemererwa kukakasa abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga nababazi bebitabo.

Wabula yye omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti nabo bakutegeka ba looya baabwe okwanganga emisnago okuva mu bannabyabufuzi.