Amawulire

Among agaanye ekyábabaka okusalwako ensimbi

Among agaanye ekyábabaka okusalwako ensimbi

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Amyuka omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu Anita Among agobye ekiteeso ekyókusalako ababaka ba palamenti ensimbi okuva ku musaala gwabwe ziyambeko gavt ng’egula eddagala erigema ekirwadde kya covid-19

Ekiteeso kino kyaleetebwa omubaka wa palamenti omukyala akikirira disitulikiti yé Zombo Esther Afoyochan ngayabadde ayagala ababaka basalibwe obukadde bwensimbi 2 buli omu ku musaala gwe ziggulire bannauaganda eddagala

Ono agamba nti singa kino kikolebwa kyakuyambako abayizi okudda amangu ku masomero kuba eddagala lijja kuba lifunise

Wabula amyuka sipiika Among ekiteeso kino yakigobye bweyategezeza nti ababaka balina kukikola kyeyagalire ngensimbi baziwa akakiiko akalwanyisa ekirwadde aka COVID-19 national taskforce.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *