Amawulire

Amattikira g’eMakerere gaamu May

Amattikira g’eMakerere gaamu May

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2022

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ettendekero lye Makerere liraze ennaku ezamattikira ag’omulundi ogwa 72, mwebagenda okuttikira abayizi abali mu mutwalo 1 mu 4,000 mu masomo agenjawulo.

Mu kiwandiiko ekyafulumye, nekiwerezebwa abaddukanya amatendekero namatabi agenjawulo, amattikira gajja kutandika nga 23 May 23 mu Kampala, gakomekerezebwe nga 27 omwezi gwegumu.

Bino webijidde ngabayizi ba MUBs bakyagenda mu maaso nokukola ebigezo byabwe, era tekimanyikiddwa ebinavaamu lwebinafuluma.

Wabula bwatukiriddwa amyuka ssenkulu we Makerere, Prof Barnabas Nawangwe agambye nti bwebanaaba tebetegese, olwo bajja kulaga olunnaku olulala.

Mungeri yeemu, abakulu bamasomero balabuddwa ku kwongeza ebisale byokwewandiisa.

Okusinziira ku kitongole kyebigezo abanakola PLE bajja kusasula emitwalo 3 mu 4,000, aba UCE bajja kusasua emitwalo 16 mu 4,000 naba UACE basasule emitwalo 18 mu 6,000.

Abanewandiisa ekikerezi aba PLE zijja kubeera emitwalo 6 mu 8,000 aba S4 bongeddwamu omutwalo 1 mu 5,000 naba S6 nebabongeramu 1 mu 8,000.

Ssabawandiisi wa UNEB, Daniel Odongo agambye nti bino byebisale ebitongole tebabba abazadde.

Okwewandiisa kujja kuffalwawo nga 31 May ate aba Late Registration nga 30 June.