Amawulire

Amateeka ku mmindi gazze

Ali Mivule

May 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abakulembeze  mu munisipaali ye Kawempe bataddewo amateeka amakakali  nga terikuddamu kufuuwa mmindi nga abantu beyambudde.

Kino kiddiridde abatuuze ba munispaali eno okwekubira enduulu mu b’obuyinza mu kitundu kino okuggala ebifo omufuuyirwa emmindi bye bagamba nti bijjuddemu,okuwemula ,obucaafu , obwenzi ekiviriddeko amaka okusasika.

Mu minisipaali  5 eza Kampala okuli Lubaga , Nakawa, Kawempe , Makindye ne Kampala Central kumpi mu buli muluka mulimu  ebifo ebimanyiddwa  ebifuyibwamu emmindi.

E Kawempe buli muluka gulina ebifo ebisoba 30 ebifuyibwamu emmindi ng’eno kati abakazi bakeerayo ku makya nnyo abamu ekibaviiriddeko okusuulawo obuvunaanyizibwa bw’awaka .

Emiluka egyisinze okukosebwa kwekuli Makerere III ne  Bwaise