Amawulire

Amasiro gakuggwa 2018

Ali Mivule

May 17th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Katikkiro wa Buganda  Charles Peter Mayiga agumizza Obuganda nga amasiro bwegagenda okuggwa okuddabirizibwa ku nkomerero ya 2018.

Bino mukwata ddamula abyogeredde mu kulambula amasiro gano g’alambuzza bannamawulire okulaba omulimu gw’okuzimba wegutuuse.

Katikiro ategezezza nga ebbula ly’emmuli, n’okuyimiriza okusonda ettaffaali bwebivuddeko omulimu gw’okuzimba oktambula empola nga era kati babadde bakozesa nsimbi kuva mu nsawo y’obwakabaka nebazira kisa.

Kati gikunukkiriza emyaka 9 bukyanga masiro gano gakumwako omuliro abantu negyebuli kati abatanategerekeka mu 2009 .

Amassiro weaterekebwa bassekabaka okuli Daniel Bassamula’ekkere  Mwanga II, Mutesa I, Edward Mutesa II ne Daudi Chwa.

Awatali kwatukiriza muwendo, Katikiro ategezezza nti mu bifo by’eobuwangwa eby’obulambuzi mu ggwanga, amasiro g’e Kasubi gegasinga okusikiririza  abalambuzi.