Amawulire

Amasasi gatokose e Jinja

Amasasi gatokose e Jinja

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Amasasi gatokose nga katogo ku kyalo Nabigwali mu gombolola ye Buyengo e Jinja poliisi bwebadde ekwata dereva waki tractor kyebikajjo, agambibwa okutomera ekanisa yabalokole.

Akulira poliisi yomu kitundu kino Peter Illian agambye nti, kyebakoze kibadde mu mateeka era tekirina mutuuze yenna gwekikosezza.

Omukwate kigambibw anti babadde bamuyigga okumala ebbanga bweyavugisa ekimama, tractor namba UAU 583/D natomera ekanisa ya Alpha and Omega Baptist church ku kyalo Kamigo e Buyengo.

Poliisi egamba nti egenda kumuvunaana.