Amawulire
Amasanyalaze gamukubye n’avaako olususu
Bya Sadat Mbogo
Omusajja owemyaka 40 akubiddwa amasanyalaze agamususumbuddeko eddiba ku mubiri gwonna, bw’abadde agezaako okwoca ebyuma.
Bino bibadde ku kyalo Nakirebe ‘A’ mu ggombolola y’e Kiringente mu district ey’e Mpigi.
Ssentebbe we kyalo Leonard Mwanje, omusajja ategeerekese nga ye Eriasa Musisi,40 abadde ayoca byuma waggulu ku kasolya k’ekkolero ly’abachina erikola ply wood erya Green Arrow, olwo amasanyalaze agaamanyi ga “three phase” negamusika n’agwa ku waaya negamwoca.
Abatuuze batabukidde abachina abakolera wano nga banenyezebwa obutafa ku mukozi waabwe.
Mukaseera kano Eriasa addusiddwa mu ddwaliro erya St. Monica Health Center III e Katende okuweebwa obujjanjabi wabula nga embeeraye mbi ddala.