Amawulire

Amaka agasoba mu 300 e Mubende golekedde okugobwa ku ttaka

Amaka agasoba mu 300 e Mubende golekedde okugobwa ku ttaka

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2021

No comments

Bya Magembe Ssabiiti,

Abatuuze abawangalira maka agasoba mu 300 ku kyalo Kiteredde muluka gwe Busenya mugombolola ye Kalonga mu disitulikiti ye Mubende bali mukusoberwa olw’omugagga Dr Kayihurankuba Rwacumika gwebalumiriza okwagala okwezza ebibanja byabwe.

Abatuuze bano basinzidde mu lukiiko oluyitiddwa abakulembeze ba disitulikiti okusobola okugonjola obutakanya obuliwo ku ttaka kwebawangalira nga lutudde ku kyalo Kiteredde nebategeeza nga Dr Kayihurankuba Rwacumika ng’ono alina faamu mu kitundu kino bwatandiise  okwezza ebibanja byabwe

Ssentebe wa disitulikiti ye Mubende Michael Ntambi wamu n’omubaka wa palamenti akikirira ekitundu kino ekya Buweekula South Ndooli William Museveni ne ssentebe we gombolola eno Gamba Edward bategezeezza nga bwebaleeta omusaveya wa disitulikiti nakebera ettaka lino nekizulibwa nga bweriri erya gavt nga abatuuze baddembe okusaba bafune ebyapa ku bibanja byabwe.

Mukwogerako ne Dr Kayihurankuba Rwacumika ku nsonga ezimwogerwako omuli okutwala ebibanja byabantu n’okubatisatiisa bamuguze ebibanja byabwe kubuwaze ategezezza nga abantu benyini webamutukirira nga bagala bamuguze ebibanja byabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *