Amawulire

Amaka 6.2% tegalina Kabuyonjo mu bibuga

Amaka 6.2% tegalina Kabuyonjo mu bibuga

Ivan Ssenabulya

November 19th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abóbuyinza mu bibuga bakubiriziddwa okusalira amagezi ekizibu kyobutaba na kabuyonjo zimala nga kino kitadde obulamu bwa bantu mu matiga g’okufuna ebirwadde.

Mu kwogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwokwetaba mu bulungi bwannansi e Mutungowakati mu kukuza olunaku lwa World Toilet Day,senkulu wekibiina ki  Community Integrated Development Initiative (CIDI), Hellen Kasujja,agambye nti amaka ebitundu 6.2% mu kibuga tegalina kabuyonjo.

Ono agamba nti embeera ate mbi nyo mu bitundu ebyomugoteko nasaba abavunanyizibwa okuyambako okuzimbira abantu kabuyonjo nokunuuna ezijjudde.

Okunonyereza kulaga nti mu Uganda amaka 79% gegalina kabuyonjo songa kuzino 36% ziri mu bibuga.