Amawulire

Alupo yagenda okutabaganya Nabbanja ne Onek

Alupo yagenda okutabaganya Nabbanja ne Onek

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Ssabaminista wegwanga Robinah Nabbanja ne minisita webibamba, ababundabunda nebigwa tebiraze Eng Hillary Onek bagenda kusisinkana olwaleero, okugonjoola obutakaanya bwebalina.

Amuwulire ag’omunda galaga nti bano bagenda kutuula olwaleero ku ssaawa 5, ngamyuka omukulembeze wegwanga Jessica Alupo yagenda okubatabaganya.

Alupo yayingidde mu nsonga zino ku biragiro byomukulembeze wegwanga, okusobola okuzza embeera mu nteeko.

Kino kyadiridde ebbaluwa Onek gyeyawandikira Nabbanja nga 29 Okitobba, nga yemulugunya kungeri gyamuyingirira nokumulemesa okukola emirimu.

Yemulugunya okuba nti yakola buli mulimu, natuuka nokugenda mu nkambi zabanoonyi bobbudamu nga tategezezza ku kuba minister ababairi abakwtaibwako, kyeyayise okutwala obuyinza bwe.

Mu bbaluwa eno yawaddeko omuklembeze wegwanga kopi, omukubiria wa palamenti nomumyuka we, minisita wemponzi Esther Anyakun ngalaga engeri Nabbanja gyadibaze emirimu gye.