Amawulire

Alipoota ku maggye yabulimba

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

Amisom in offensive

Omukago ogutaba amawanga ga Africa ogwa African Union gukubye ebituli mu alipoota y’ekibiina ekya human rights watch, nga eno akawungeezi yalaze nga abajaasi abali mumukago gwa africa bwebasobya ku bakyala mu gwanga lya somalia.

Okusinziira kukiwandiko kyetuufunye okuvva mu kakiiko ka Africa, akakiiko kategeezeza nga bwekagenda okukola kyonna ekisoboka okwenenya byona ebyabade mu alipoota eno, era nga entekateeka weeziri okukangavula abajaasi bonna abavva ku mulamwa.

Wabula akakiiko kalazze obutali bumativu kungeri alipoota eno gyeyakoledwamu , nga abakungu bagamba nti mwabademu kyekubiira,sso nga nebyazuulidwa ebimu byabade byetaaga kwebuuza ku maggye gabeeko kyegoogera.

Bano bagamba nti alipoota ensonga yazikutte mungeri yakintabuli , songa kino tekiraga kifaananyi ky’awamu ekya AMISOM.