Amawulire

Akulira poliisi ye Nansana akwatiddwa

Ali Mivule

April 12th, 2014

No comments

Kirumira arrested

Omuduumizi wa polisi ye Nansana Mohammed Kirumira akwatiddwa.

Ono  akwatiddwa ku bigambibwa nti yalidde ekyojjamumiro kya mitwalo 20 ezamusindikiddwa ku  mobile money.

Wabula Kirumira bino abyegaanye era nga alumiriza nti waliwo  ekibinja ky’ababbi abakolera wamu n’abanene mu polisi okumulwanyisa.

Kirumira era agambye nti kino tekigenda kumuyigula ttama ng’ekigendererwa kye kyakumalawo bamenyi b’amateeka naddala abazigu.

Wabula ye omwogezi wa polisi Fred Enanga agambye nti ye talina kyamanyi ku nsonga eno.