Amawulire

Akena Ababe Bamukyukidde

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Waliwo ekibinja kyabannakibiina mu UPC nga kiva munda mu kiwayi kyomubaka wa munisipaali eye Lira Jimmy Akena ekimukyukidde nga kigamba alina olukwesikwesi okutunda ekibiina  eri ekibiina kya NRM.

Bano bakulembeddwamu akulira emirimu gyekibiina ku UPC, Higenyi Kemba ngono ategezezza bannamwulire nti Akena aliko enkiiko ezekyama zeyetabamu nomukulembeze we gwanga Yoweri Museveni mungeri yokukuta.

Bano bagala Akena alangirire nti takyali wa UPC era abaviire, kubanga tebajja kukiriza Muntu ayamba kyenvu munda songa yefuula wa UPC.

Kinnajjukirwa aba UPC mu kulonda okwaggwa bawagira president era oluvanyuma mwami Muesveni nalonda mukyala wa Akena, Betty Amongi kubwa minister we ttaka.

Wabula Akeona byonna byebamulumiriza abiwakanya nti ssi bituufi kyayagala kwekutekaow enkolagala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *