Amawulire

Ak’eddiimo kakugenda mu maaso-Basomesa

Ak’eddiimo kakugenda mu maaso-Basomesa

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2019

No comments

Bya Damali Muhkaye ne Prossy Kisakye, Abakozi okuva matendekero ga gavuementi okwetolola eggwanga bakalambidde nti bakugenda mu maaso n’ak’ediimo kaabwe okutusa nga gavumenti ebawadde ensimbi zaabwe zonna ezenyongeza.

Kino kiddiridde minisita avunanyizibwa kunsonga za bakozi Muluuli Mukasa okuvaayo nategeeza bannamawulire nga gavumenti bwefunye obuwumbi 15 kunsimbi ez’okubongeza omusaala gwabwe zebakanyako.

Mungeri yemu minisita Muruli Mukasa ategezza nga ensimbi ezisigadde bwezigenda okubaweebwa mu mwaka gwe by’ensimbi okujja era n’abasaba okusazaamu akediimo kaabwe.

Wabula mu lukungaana olw’awamu lwe batuzizza ku ttendekero e makerere sentebbe w’omukaago ogutwala abasomesa mu matendekero ga gavuemnti Dr Grace Lubaale ategezezza nga bwebatagenda kusazaamu k’eddiimo kaabwe okutuusa nga ensimbi zaabwe eziwerera ddala obuwumbi 150 zibaweredwa.

Ssentebbe wa bakozi ba university za gavumenti abatasomessa Jackson Betihama ategezezza nga obuwumbi 15 bweziri entono nyo okuzigabana bonna okwetoloal eggwanga.

Gavumenti yanonyezaako ensimbi obuwumbi 150 okusobola okulaba nti abasomesa ku mutendera gwa univasite, primary ne secondary bongezebwa emisaala, wabula obuwumbi 15 bwa bakozi ba univasite.