Amawulire

Akatale ke Wandegeya kagulwawo olwaleero

Ali Mivule

January 24th, 2014

No comments

 

wandegeya

Akatale ke Wandegeya kagulwawo olwaleero mu butongole era abasuubuzi bakutandika okukakalabya egyabwe.

Bano bamaze kukiriziganya ku ndagaano y’obupangisa n’ekitongole kya KCCA gyebali basimbidde ekkuuli nga bagamba nti ebyalimu byali  bibanyigiriza.

Bano era babadde bemulugunya nti akatale  kabadde tekanaggwa nga emidaala egisinga gibadde gikyazimbibwa.

Wabula betemye engalike nga bagamba bamaze ebbanga nga tebakola era nga bafiirwa, kwekusalawo okupondooka beyune akatale banonye ensimbi.

Abasubuzi  bakusasula wakati we siringi 50,000 ne  250,000 okusinziira ku byamaguzi oli byatunda.

Akatale kano galikwoleka  kagulwawo president Museveni omwaka oguwedde wabula nga abasubuzi bali bakesamba olw’obutakanya n’aba KCCA

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *