Amawulire

Akakiiko tekannafuna bbaluwa ya loodimeeya

Ali Mivule

March 12th, 2014

No comments

Kiggundu

Akakiiko k’ebyokulonda keganye eby’okufuna ebbaluwa yonna okuva ewa Loodi Meeya Wa Kampala Erias Lukwago ekalabula ku kujuza ekifo kye eky’obwaloodi meeya.

Lukwago olunaku olw’egulo yavuddemu omwasi ku kulonda kuno okutekebwatekebwa akakiiko kano okujuza ekifo kye n’akalabula okukakuba  mu mbuga z’amateeka kebatasazamu kulonda kuno.

Ono era yategezezza nga bweyawandiikidde akakiiko kano nga akalabula akabi akayinza okuva kulonda kuno ye kwayita okumenya amateeka.

Mu bbaluwa eno agamba yawaddeko omuwandiisi wa Kooti, saako ne Minister Wa kampala nti kuno kunyomoola biragira bya kooti eyamuzza mu ofiisi oluvanyuma lw’okugobwa bakansala.

Wabula omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda  Jotham Taremwa asambazze ebyokufuna ebbaluwa eno era nategeeza nga Lukwago bwali ow’eddembe okugenda mu kooti nga bweyaweze.