Amawulire

Akakiiko kébyókulonda kasabye omusango gwa Nsereko gugobye

Akakiiko kébyókulonda kasabye omusango gwa Nsereko gugobye

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Akakiiko ke byokulonda kasabye kkooti enkulu mu kampala egobe omusango gwe byokulonda ogwawawabirwa omubaka wa kampala central Muhammed Nsereko.

Munnamateeka wa kakiiko ke byokulonda,Eric Sabiiti, ategezeza omulamuzi Margaret Apinyi nti eyatwala omusango guno mu kkooti  munnakibiina ki NUP Fred Nyanzi alemereddwa okuwa empabaye omuwawabirwa okusobozesa omusango ogugenda mu maaso.

Wabula munnamateeka wa Nyanzi, Justine Semuyaba alemedeko nti Nsereko yaweebwa empaaba mu budde naye nagaana okugikwata.

Kati omulamuzi asabye akakiiko ke byokulonda okuteeka okusaba kuno mu buwandiike noluvanyuma akole ensalawoye.

Nsereko, yawangula ekifo kyomubaka wa palamenti owa kampala central nobululu 16,998 mu kulonda okwaliwo mu mwezi gwa gatonya omwaka guno ate munne bwebeeri ku mbiranye Nyanzi  owa NUP nafuna obululu 15,975 wabula alumiriza nti obuwanguzibwe bwamunyagibwako kwekudukira mu kkooti.