Amawulire

Akakiiko kébyéttaka mu ggwanga kakunyiziddwa ku mivuyo ku ttaka lya Nakawa-Naguru

Akakiiko kébyéttaka mu ggwanga kakunyiziddwa ku mivuyo ku ttaka lya Nakawa-Naguru

Ivan Ssenabulya

April 28th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Akakiiko akenjawulo akatekebwawo, okunonyereza ku ttaka lye Naguru –Nakawa kaazudde ngakakiiko kettaka mu gwanga aka Uganda Land commission kaliko polojekiti yebyobulamu gyebagotaanya eyokuzimba eddwaliro erirongooa nokukyusa ensigo nekibumba.

Bweyabade yeyanjudde eri akakiiko kano, akakubirizibwaomubakawe Kazo, Dan Atwijukire Kimoso, abaddukananya eddwaliro lya MED Hill Hospital, nga bakulebeddwamu George Mike Mukula, bagambye nti bagaana okubawa ettaka e Naguru songa kyalikiragiro kyamukulembeze wagwanga okubawa yiika 7.

Mukula yagambye nti gavumenti yabekennenya naye bamala nebabasuula ebbali, kati bagala babalowozeeko.

Ssentebbe wakakiiko omubaka Dan Kimoso, yasubizza bagenda kwongera okunonyereza.