Amawulire

Akakiiko ka palamenti kagenda kwanja alipoota ku bijambiya

Akakiiko ka palamenti kagenda kwanja alipoota ku bijambiya

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Akakiiko ka palamenti akebyokwerinda obutebenkevu nensonga zomunda mu gwanga, kategezezza nga bwebetegse okwanja alipoota yaabwe eri palamenti ku lunnaku Lwokubiri wiiki ejja.

Ababaka abatuula ku kakiiko kano batumibwa okugenda okwekennneenya obutemu bwebijambiya e Masaka.

Ssentebbe wakakiiko kano omubaka Rosemary Nyakikongoro agambye nti bagotanyizibwamu minisita webyokwerinda Jim Muhwezi nti yagezaako okubajja ku mulamwa naye baakoze ogwabwe.

Agambye nti ekigendererwa kyabwe tekwali kugotaanya okunonyereza kwabebyokwerinda era tebakikoze.