Amawulire

Akabondo ba Buganda kagenda kutuula okuteesa ku Butemu bw’eMasaka

Akabondo ba Buganda kagenda kutuula okuteesa ku Butemu bw’eMasaka

Ivan Ssenabulya

August 31st, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Akabondo kababaka ba palamenti abava mu Buganda kagenda kutuula bukubirire olwaleero, okuteesa ku ttemu eryongedde okulanda mu kitundu kye Masaka.

Eno abebijambiya, bakatta abantu abagoba mu 30 mu bbanga eryomwezi gumu, ekyongedde okuteeka abantu ku bunkenke.

Ssabawandiisi wakabondo ka Buganda, omubaka wa Ntenjeru South Patrick Nsanja akakasizza ngolukiiko bwergenda okutuula.

Abantu abasoba mu 60 bebakwatiddwa, wabula poliisi yategezeza nga baasigazza 15 abekuusa ku bubinja bwabatemu buno.

Omubaka wa Kimanya-Kabonera, Dr. Abed Bwanika alina essuubi nti balina byebagenda okutukako.

Omubaka wa Bukomansimbi Geoffrey Kayemba Solo yye akyewunaganya, kisoboka kitya gavumenti okulemererwa okukomya ettemu lino.

Mungeri yeemu, amyuka omubaka wa gavumenti mu kibuga Masaka Ahmed Kateregga Musaazi, asabye banadiini okwegatta ku bebyokwerinda okulwanyisa obutemu mu kitundu kino.

Kateregga yasinzidde ku wofiisi za UJA mu Kampala, bweyabadde ayogera ne bannamwulire nagamba nti kikulu nnyo okukolera awamu.

Agambye nti ngojeko okuyiwa abasirikale mu kitundu, abakulembeze bonna okuva ku byalo ne banadiini betaaga kwetaba mu lutalo luno.