Amawulire

Akabenje ke Nakasongola katuze abantu 3

Akabenje ke Nakasongola katuze abantu 3

Ivan Ssenabulya

October 18th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje, akafirirddemua abantu 3 mu disitulikiti ye Nakasongola.

Akabenje kano, kaagudde mu kitundu kye Kyankonwa ku luguudo olva e Kampala okudda mu disitulikiti ye Gulu nga waliwo nabantu abalal abalumiziddwa.

Okusinziira ku Isah Semwogerere, omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Savanah akabenje kano ketabiddwamu emmotoka okubadde kika kya Harrier namba UAZ 264/S nendala kika kya Mahidra namba UBE 153/L bwezitomereganye.

Harrier ebadde eva Nakasongola ngedda Kampala nga zitomereganye bwenyi ku bwenyi.

Abaafudde kuliko Singh Manpreet abadde wamyaka 39, Surrinder wamyaka 37 ne Aziz Onach owa 38.

Abasimattuse nebisago, babaddusizza mu ddwaliro lya Nakasongola Health Centre IV gyebafunira obujanjabi.