Amawulire

Akabenje katuze bataano e Kayunga

Ali Mivule

January 26th, 2014

No comments

Kayunga hospital

Abaana bataano  bafiiride mu kabanje akagudde ku luguudo olugatta Kayunga ku Bbale, mu kiro ekikeesezza olunaku olwaleero.

Akabenje kagudde ku kyaalo kitwe ,ekimokota Number UAT 279T  nga kitambuzza bikajjo, bwekiremeredde omugoba waakyo nekisogonyola abaana bano.

Abafudde kuliko kagimu Hadad, Nambi  mary,n’abalala basatu.

Ayogerera police mu kitundu kino Lameck Kigozi, atubuulide nti mu kaseera kano batandise okuyigga  omugoba w’ekimotoka kino .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *