Amawulire

Akabenje katuze bana

Ali Mivule

December 28th, 2013

No comments

accident scene 2

Abantu bana  bafiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde e kakinzi mu disitulikiti ye Luweero.

Ki loole ekika kya   TATA No.UAL 318 B  kitomeraganye ne motoka  Toyota  Premio UAT 561 Q.

Abafudde kuliko    Alithum Bruce omusomesa wa yunivasite ye  Nkumba , Tonny Kiisa owa  banka ya  Centenary , Deus Constance omukozi mu kitongole ekiwooza ne  John Ssebbaale, abadde avuga ki loole.

Ye omu ategerekese nga  Mary Amon addusiddwa mu ddwaliro e  Kiwoko nga amenyese emikono.

Adumira poliisi ye Luweero Godfrey Ninsiima ategezezza nga akabenje kano bwekavudde ku kuvugisa ekimama.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *