Amawulire

Akabenje kasse owa bodaboda e Rukiga

Akabenje kasse owa bodaboda e Rukiga

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Omuntu omu afiiriddewo mbulaga mu kabenje akagudewo mu disitulikiti ye Rukiga n’omulala n’abuuka n’ebisago eby’amaanyi.

Akabenje kano kabedemu bodaboda 2 reg no. UEV 010Z bajaji ebadde evugibwa  Kakuru Peter ow’emyaka28  omutuuze w’eKyabuhangwa ng’ono ye afiiridewo ne Byamukama Michael ow’emyaka35  omutuuze we Rwakikara Muhanga town council abadde avuga bajaji UEM 918U ono ye mukama amuwanzeko eddusu nasimatuka nga mu kiseera kino anyiga biwundu  mu ddwaliro e Kabale .

Kigambibwa nti Byamukama mu bulagajavu yayingidde ekkubo nayingirira bodaboda ya Kakuru kati omugenzi ekyavirideko akabenje kano

Omwogezi wa poliisi e kigezi Elly Maate akakasiza amawulire gano nategeeza nti Byamukama bwamala okusuuka wakuvunanibwa.