Amawulire

Akabenje kasse abantu 6 e Ntungamo

Akabenje kasse abantu 6 e Ntungamo

Ivan Ssenabulya

December 30th, 2022

No comments

Bya Kankiriho Obed,

Abasaabaze mukaaga bafiiridde mu kabenje dekabusa akagudde ku luguudo oluva e Rukiga -Mbarara.

Elly Maate Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Kigezi agamba nti akabenje kaguddewo nkya ya leero ku ssaawa nga 04:00 ez’oku makya ku Satellite Hotel 2kms okuva mu katawuni ke  Muhanga ku luguudo lwa Rukiga Mbarara highway mu disitulikiti y’e Ntungamo.

Anyonyodde nti emotoka ezikoze akabenje kano zetomedde ku mitwe ekivudeko abantu 6 okufa  okuli ne baddereeva bombi ate abalala amakumi asatu ne balumizibwa nnyo.

Akabenje kaabaddemu bbaasi bbiri emu okuva e Rwanda, reg no 798B eya Volcano RAD CO ate endala okuva mu kkampuni ya bbaasi e Kenya Oxygen reg no KCU 054L.

Matte akakasizza nti abaakosebwa batwaliddwa mu ddwaaliro lya Rutooma Health centre mu town council y’e Muhanga.

Akabenje kavudde ku Lufu oba kalenge abadde akutte enyo abagoba baazo ne balemererwa okulaba obulungi gye balaga