Amawulire

Poliisi ekutte aberigombedde ku kkubo e Kisoro

Poliisi ekutte aberigombedde ku kkubo e Kisoro

Ivan Ssenabulya

November 4th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikiti ye Kisoro bakutte omusajja owemyaka 29 nomukazi abalanikidde mu katambi, nga berigomba ku mabbali gekkubo.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly Maate agambye nti omukwate mutuuze ku kyalo Migeshi mu muluka gwe Rwaramba e Kisoro.

Ono muvuzi wakagaali, ngomusango yaguddizza ku stage ya Travelers Hotel mu gombolola ye Nyakinama e Kisoro.

Poliisi emukutte n’omuwala bwebabadde Colodine Mukamulenzi, owemyaka 24 ngono agambye nti tebamusobezaako, naye baakikoze mu kwagala nebesanyusa ku mabbali gekkubo.

Bano bagaliddwa ku CPS e Kisoro, nga baguddwako emisango gyokwefuula ekitagasa.