Amawulire

Agambibwa okusiiga abaana siriimu agguddwaako emisango

Ali Mivule

January 13th, 2014

No comments

nurse killer

Omusawo agambibwa okufumita abaana ba banne empiso n’ekigendererwa ky’okubasiiga mukenenya agguddwaako emisango.

RoseMary Namubiru kigambibwa okuba nga yakozesa empiso neyejjamu omusaayi olwo n’agukuba mu baana abato.

Omukyala ono mutuuze e Seguku-Nsalo zooni ku luguudo lw’entebe.

Oludda oluwaabi lugamba nti ng’ennaku z’omwezi 7 omwezi guno, Namubiru ng’asinziira ku kalwaliro ka Victoria Center ku Lumumba yagezaako okutta omwana Mathew Mushabe ng’amuwa omusaayi gwe gw’amanyi nti gulimu akawuka ka siriimu

Ono nno yegaanye emisango gino bw’abadde mu maaso g’omulamuzi Olive Kazarwe era n’asindikiddwa mu kkomera okutuuka ng’ennaku z ‘omwezi 31 omwezi guno lw’anadda mu kooti nga n’okunonyereza bwe kugenda mu maaso.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *