Amawulire

Agambibwa okubba mu Kiriiro kyémmere attiddwa

Agambibwa okubba mu Kiriiro kyémmere attiddwa

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2021

No comments

By a Ivan Ssenabulya

Poliisi e Mbale etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku muvubuka atanategerekeka bimukwatako nga bamutebereza okuba omubbi.

Omugenzi, abadde atemera gyobukulu 20 wabula kigambibwa nti yabadde aliko ekiriiro kyemmere kyeyamenya nanyaga ebintu byabukadde 3 bwansimbi mu Nakaloke T/C mu kibuga kye Mbale.

Okusinziira ku mutuuze Emma Watenyeri eranga mukumi ku ddwaliro lya Nakaloke Health Center IV oluvanyuma lwokukwata omuvubuka ono, ogubinja gwabantu gwamukakanyeko nebamukuba nebamutta.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon, Rogers Taitika akaksizza okutibwa kwomuvubuka ono ngagambye nti okunonyereza kugenda mu maaso ku baani abatwalidde amateeka mu ngalo.