Amawulire

Agambibwa okuba omufere gamumyukidde mu kaguli

Agambibwa okuba omufere gamumyukidde mu kaguli

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omusajja agambibwa okuba nti abadde anyagako abantu sente ng’abalimba nti abaguza emmotoka kyadaki asimbiddwa mu mbuga z’amateeka navunanwa.

Mutyaba Robert myaka 49 nga Musubuzi era nga mutuuze we Kanoni town Council mu District ye Gomba asimbiddwa mu kkooti ento ku Luguudo Buganda, nasomebwa emisango gy’okufuna sente mumankwentu wabula neyegaana.

Oludda oluwaabi lugamba mumwaka gwa 2017 new 2018 mu Kampala district ne Kanoni mu Gomba yafuna obukadde bw’ensimbi za Uganda 23 okuva ku Waiswa Hassan ng’amulimba nti agenda kumuguza emmotoka ekitaali kituufu.

Kati wakudizibwa mu kkooti nga October 27th 2022 lwasubirwa okutandika okuwozesebwa.