Amawulire

African Union evumiridde ebiri mu South Africa

African Union evumiridde ebiri mu South Africa

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2019

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya

Ssentebbe owa African Union Commission Moussa Faki Mahamat avumiridde obw’egugungo obugenda mu maaso mu gwanga lya, South Africa nga bannansi balumba okukuba nokubba amadduuka gabagwira.

Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omwogezi wakakiiko kano, Ebba Kalondo agambye nti bagala ebikolwa bino bikome.

Kati ekibiina ekitaba amawanga ga Africa kino, kyagala gavumenti mu gwanga lino evunane bonna, abli emabega webikolwa bino.

Wabula ssentebbe Mahamat yeyamye nti baakwongera okuwagira egwanga lya South Africa okutebenkera.

Mungeri yeemu ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwomupiira mu gwanga lya Zambia, ekya Football Association of Zambia, kisazizaamu omupiira ogwomukwano gwebababde bagenda okuzannya ne South Africa ku Lwomukaaga luno mu kibuga ekikulu Lusaka.

Kino kidiridde embeera egenda mu South Africa, nga banansi begugunga, n’okulumba abagwira mu South Africa.

Bino webijidde nga nabantu ku mikutu muyunga bantu mu Zambia, babadde babanja nti omupiira guno wakati wa Chipolopolo ne Bafana Bafana gusazinbwemu, okulaga obutali bumativu, olwaba-South Africa.

Kati gavumenti ya Zambia era ewabudde ba dereva be mmotoka ennee ezebyamaguzi, okujira nga balindako okugenda mu South Africa okutuusa embeera lwenadda mu nteeko.

Minisita webyentambula Mutotwe Kafwaya, asabye naabo abali munda mu South Africa, okusimba mmotoka zaabwe mu bifo weziyinza okubeera obulungi.