Amawulire

ADB ekubye Uganda enkata ya $288M zikole enguudo mu Kampala

ADB ekubye Uganda enkata ya $288M zikole enguudo mu Kampala

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Gavumenti ya Uganda bajikubyeko enkata ya bukadde bwa $ 288 okuva mu African Development Bank okudabiriza enguudo mu kibuga Kampala.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire mu Kampala, akolanga akulira ebyókuzimba enguudo mu KCCA Justus Akankwansa, agambye nti ssente zino zigenda kukozesebwa okusimba enkulungo 22 nokutereeza emyala.

Enguudo KM 69.9 zezigenda okudabirizibwa mu divizoni 5 ezekibuga, okukola neguundo KM 134 ezitali zabidduka, ezabobugaali nabebigere.

Ebiralala bagenda kukola parking zemmotoka okuli Bus neddala, kaabuyonjo 30 nobutale 6.

Songa bakufiisawo ensimbi ezigenda okusomesa abakyala na bavubuka okufuna obukodyo mu nzirukanya ya businessi.

Juliet Muwanguzi ye mwogezi wa KCCA amenye ezimu kunguudo ezigenda okukolebwa wansi wa pulojekiti eno.