Amawulire

Ab’oluganda lw’omugenzi Kasango balwanidde omulambo

Ab’oluganda lw’omugenzi Kasango balwanidde omulambo

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Katemaba yeyolese mu kusabira omwoyo gwomugenzi, munnamateeka Bob Ksango okubadde ku kkanisa ya All Saints e Nakasero.

Eno aboluganda batanudde okulwanira omwoyo gwomugenzi, oluvanyuma lwobutakanaya ku wa era anai atekeddwa okumuziika.

Kasango yafa ekirwadde kyomutima ku lunnaku Lwomukaaga, nga yafiira mu ddwaliro lye kkomera e Luzira bwebaali batekateeka okumwongerayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

Namwandu wa Kasango, nga ye Nice Kasango naboluganda lwe babadde bagala, omugenzi kumutwala azikibwe ku kyalo Gweri mu kibuga Fort portal.

Wabula ab’oluganda lwa Kasango, bakwakudde omulambo nebaguteeka ku kabangali nebolekera distulikiti ye Tororo.

Kitegezeddwa nti Kasango obuvo bwe buli eno.

Kasango weyafirirdde ngakola kibonererzo kyabusibe, emyaka 16 ku misango gyokwekobaana nokujingirirra ebiwnadiiko nabakungu mu ministule yabakozi okubulankany akasiimo kabakozi, obuwumbi 15 nokusoba.