Amawulire

Abakungu ba MTN 2 baakwatiddwa
Bya Ritaha Kemigisa
Poliisi ekakakasizza, nga bweyakutte abagwira 2, abakola nomukutu gwempuliziganya, ogwa MTN Uganda, nebabazza okwabwe, nga kigambibwa nti babadde benyigira mu bikolwa ebitataganya ebyokwerinda bye gwanga.
Omumyuka womwogezi wa poliiis, Polly Namaye ategezeza nga Olivier Prentout omufalansa, ne Annie Tabura munansi wa Rwanda bwebaziddwayo, olunnaku lwe ggulo.
Namaye wabula agambye nti okunonyererza ku bano, kukyagenda mu maaso.