Amawulire

Abénganda zómugenzi Kasiwukira bayimbuddwa

Abénganda zómugenzi Kasiwukira bayimbuddwa

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abenganda z’omugenzi Kasiwukira 5 eyali omusubuzi omukukutivu mu Kampala bawereddwa okweyimirirwa.

Bano okuli John Gayi baaletebwa mu kkooti ya Buganda road nga October 21st 2021 nebasindikibwa mu kkomera ekitalya lwakugezaako kukyuusa byabuggaga byo mugenzi Kasiwukira mu maanya gabwe nga bagamba nti bizinesi ezimu bazikola naye.

Omulamuzi Miriam Okello Ayo bano abayimbudde buli omu namulagira okusasula akakalu ka kkoti ka kakadde k’ensimbi kamu nababeyimiridde balagiddwa okusasula obukadde makumi 30 ezitali zabuliwo.

Bano  kuliko John Gayi Bugembe, Mpoza Darglas, Namazzi Jovita, Ddamulira Allan ne Kalule Samuel
OLudda oluwaabi nga lukulembeddwamu Peter Mugisha Lugamba nga April 2017 ku Ben Kiwanuka Street wano mu Kampala,  bajingirira ekiwandiiko ekikyuusa bizinensi nga bagamba nti kyaali kisayiningiddwa mutabani wa Kasiwukira Karungi Herman ekitaali kituufu.