Amawulire

Ab’emikutu gyamawulire bagyemedde gavumenti

Ab’emikutu gyamawulire bagyemedde gavumenti

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ekibiina ekigatta abemikutu gyamawulire National Association of Broadcasters (NAB) bagaanye okuwa gavumenti obudde obwobwerere nga bweyaagira.

Gavumenti okuyita mu kakiiko akatwala ebyempulizganya mu gwanga aka Uganda Communications Commission (UCC) mu bbaluwa gyebawandiika gyebuvuddeko eri ab’emikutu gyamwulire, balagira nti ababaka ba gavumenti nabakozi baayo abalala baweebwenga obudde obwobwerere, okukunga abantu bageme ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Kino balagira nti kikolebwenga ku TV ne Radio, emirundi 2 bli wiiki ku Lwokusatu neku Sunday ku ssaawa 2 ezakawungeezi.

Mu kino aba UCC baategeeza nga bwebaali bateeka mu nkola ekiragiro kyomukulembeze wegwanga, kyeyayisa nga 15 Novemba.

Kati aba NAB bawandiise ebbaluwa nga 27 Decema 2021, nga baanukula mu kuwakanya ekiragiro kya gavumenti.

Ssentebbe wa NAB Kin Karisa, agambye nti gavumenti bweba eyagala okukunga bantu nokubalaga obukulu bwokugemebwa, batekeddwa okubukinga ate basasule, nga gavumenti bwesasaulira obuwereza bwayo obulala.

Abakulu mu kitongole kyebyobulamu bagamba nti waddenga abantu bongedde okufaayo okwegema, wakyaliwo okubalaata ngabamu tebanajumbira.