Amawulire
Abe’Kyaggwe bajjukidde n’okusiima eyali Ssekiboobo
Bya Ivan Ssenabulya
Abantu be Kyaggwe bajjukidde nokusiima emirimu egyakolebwa eyali Ssekiboobo Alex Benjamin Kigongo.
Kigongo, Mukama yamujulula nga 31 mu March w’omwaka oguwedde, egwanga bweryali mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe.
Omugenzi yagwa ku kkubo, abadduukirize bagezaako okumutaasa, wabula nassa ogwenkomerero nga yakatusibwa ku ddwaliro.
Mu kusabira omugenzi, okubadde ku St Andrews and Philip e Mukono, abentu ebnajwulo bogedde ku mirimu gyeyakola, egyakulakulanya ennyo essaza nebintu bya Mukono awamu.
Kati Stephen Ssewanonda, ku bakulembeddemu entekateeka eno akutidde abaana beyali Ssekiboobo okusigala obumu.
Elijah Bogere Lubanga, eyaddira Benjamin Kigongo mu bigere, omugenzi amwogeddeko mnti yakola nnyo okununula ekitebbe kye Ssaza okukizza mu mikono gya Buganda, kubanga kyali kyatwalibwa abasirikale nobukulembeze bwa disitulikiti ye Mukono.